Poliisi egamba nti abantu 2 beebafiiridde mu kabenje akaaguddewo akawungeezi akayise wali kunkulungo ye Namboole ku Northern Bypass, abawerako beebaddusiddwa mu malwaliro nga bali bubi.
Akabenje kano kaavude ku lore ya Fuso eyabadde etisse kasooli okulemererwa okusiba, olwo nesaabala motoka ne pikipiki nezigoyaagoya, nga motoka 13 zeezaagoyeddwa.
Micheal Kananura ayogerera poliisi yebidduka muggwanga, agambye nti dereeva wa lore eno yagibuuseemu neyeeyokya ensiko, nga bbo abantu abaakoseddwa bali mu ddwaliro lye gwatiro ne mulago.
Ebya Siniya yokuna 2023 bifulumiziddwa.