Abakozi abakolera mumakampuni gabaccayina Mumiruka okuli Namawojjolo ne Kasenge Mu Ggombolola ye Nama Mu district ye Mukono balaajana olwensimbi zebafuna okubeera ezomunyoto ate nga nembeera mwebakolera sinungi kubbanga tebawebwa ndagano
Bano okwemulugunya kwabwe bakutusiza buterevu eri abakulembeze babwe ababde bawubye yoko olubu lwebigere okuli Omubaka akiikilira abakozi Mu parliament ya Uganda Doctor Abdul Byakatonda Kwosa no mubaka Wa parliament akiikilira ekitundu kinno ekya Mukono North Kiwanuka Abdalah Mulimamayuni mukawefube wabwe gwebalimu okulaba abakozi embeera jebakoleramu nabutya Webayinza okubisalira amagezi.
Omubaka akiikilira abakozi Mu parliament ya Uganda Dr Abdul Byakatonda agamba nti kisaana wabeerewo enteeseganya Wakati wabakozi nabakozesa emirimu wejisobolera otambula kinawadda.
Ye Omubaka Wa parliament Owekitundu kinno Kiwanuka Abdalah Mulimamayuni naye ariko by'atubuulidde oluvanyuma lwokurambura kunno.
Ebya Siniya yokuna 2023 bifulumiziddwa.