Ekibiina kya Uganda Scouts Association Kitongozza Pulojekiti Empya.


Ekizimbe kya Serena Heights ekibalirirwamu obuwumbi bwa Ugx 5 nga kizimbibwa e Kaazi
Image: Waswa Deo

Ekibiina ekigatta aba Scout ki Uganda scouts Association kigamba omuze gw'okusabiriza gwebabadde nagwo okumala emyaka gulabika gutuuse ku nkomerero.

Barugahale Mujuni Patrick, akulira olukiiko oluvujjirira emirimu gyabascout, agambye nti batandise kaweefube ow'okukulakulanya ettaka eriwezaako yiika 10 kwezo e 100 ku kifo kya National camping ground e Kaazi.

Kuno baakuteekako wooteeri galikwoleka, ssaako ekifo ewazannyirwa emizannyo nga project zonna zaakumalwo obuwumbi  12.