Ssekamwa wa Gavumenti era akulira essengejjero ly’amawulire Ofwono Opondo akakasizza nti eyaliko omuwandiisi ow’enkalakkalira mu ministry y’eby’ensimbi n’okuteekerateekera eggwanga Keith Muhakanizi kaakano abadde omuwandiisi ow’enkalakkalira mu woofiisi ya Ssaabaminisita,abadde atutte ekiseera ng’ajjanjabwa ekirwadde ekyamututte Ezzirakumwa.
Ofwono ategeezezza nti Muhakanizi yafiiridde mu ddwaliro erimu mu kibuga Milan ekya Yitale gyeyaddusibwa jjuuzi ng’ekirwadde kya Kookolo kimubala embiriizi.Mu byanajjukirwako,Muhakanizi kitegeezeddwa nti ye n’eyali Gavana wa Banka enkulu Tumusiime Mutebile baali basajja abaalinanga embavu eziremera ku kituufu mu by’enfuna ne mu maaso g’omukulembeze w’eggwanga lino.Keith Muhakanizi yazaalibwa Rukungiri mu maka ga Rev Kosia Kajwengye ne Zeridah Kajwengye.
Ebya Siniya yokuna 2023 bifulumiziddwa.