Okwegatta n’okukolera awamu gwe musingi gw’obuwanguzi bwa Buganda -Kabaka

Ssaabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II nga ayanilizibwa kumikolo.
Image: Yintanenti

Ssaabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II asabye abantu ba Buganda okumanya nti okwegatta n’okukolera awamu gwe musingi gw’obuwanguzi bwa Buganda.Nnyininsi asinzidde ku mbaga ya mazaalibwage n’asaba abantu okwekuuma endwadde ya Mukenenya,okwekebeza n’okwejjanjabisa.

Magulunnyondo asiimye abantu olw’obuwulize eri eddoboozirye ne bataggyibwanga ku mulamwa awamu n’okuddirira,yeebazizza abakulembeze olw’okulambikanga obulungi abantu be nebasobola okussa mu nkola byonna Obuganda bye bwettanira.Beene yeebazizza abakulembeze b’eddiini abazzenga bamusabira awamu n’okusabiranga Obuganda.

Mukuumaddamula w’Obwakabaka bwa Buganda Oweekitiibwa Charles Peter Mayiga akkaatirizza amakulu g’okutambuliza amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka ku miramwa gy’okulwanyisa endwadde zinnamutta.Omukulu ategeezezza nti engeri Ssaabasajja gyeyassibwamu obwesige ekitongole ky’ekibiina ky’amawangamagatte mu kukwata Omumuli gw’okulwanyisa Mukenenya ate n’agendanga mu maaso n’okuttanga emikago gy’eby’obulamu,ebirwadde okuli Mukenenya ne Kookolo Obuganda bulabiddwa nnyo mu kubirwanyisa.