Ng’Abakristo batandika Ssabbiiti entukuvu,Ssaabasumba w’Essaza ekkulu erya Kampala Kitaffemukatonda Paul Ssemwogerere abasabye beekolemu omulimu basondere Abakaramoja emmere n’ebirala ebyetaagisa mu bulamu.
Ssaabasumba bweyamalirizza Evvanjiri ya Matabi yalaze obwennyamivu bweyafunye amawulire nti abataka e Karamoja basiiba ne basula ng’abasinga beeriira bikoola bya miti na muddo ng’ebitundu bya Uganda ebirala balya n’okusuula ne basuula olw’ebyengera.
Ebya Siniya yokuna 2023 bifulumiziddwa.