Ssabbiiti eyingiddeey'okubiri mu kakuyege w' abeegwanyiza obukulembeze bw'eggwanga

Abali mu lwokano lw’obukulembeze bw’eggwanga lino leero lwebatandika ssabbiiti yaabwe ey’okubiri mu kaweefube gwebaliko ow’okuwenja obuwagizi mu bannayuganda nga beeteekerateekera akalulu k’ennaku z’omwezi 18th omwezi ogwa Mukutulansanja Ogw’okubiri omwaka ogujja.

Akwatidde bendera ekibiina kya FDC Ret Col Dr Kiiza Besigye avudde mu Bugwanjuba bw’obukiikaddyo bw’eggwanga nga kati ayolekedde ettundutundu erimanyiddwanga Busoga Sub Region nga waakutandikira Kamuli leero ssong’ate Kabwejungira YKM7 akwatidde ekibiina kya NRM bendera mu kalulu ke kamu akyagenda mu maaso mu ttundutundu erimanyiddwanga West Nile ye eyaliko Ssaabaminister wa kuno John Patrick Amama Mbabazi ayolekedde Hoima.

Vencious Baryamureeba ye atandikira mu Bukiikakkono bwa ggwanga weewaawo nga yasooka kuyimirizaamu kaweefubeewe ono olw’emiteeru gyebaagereesa egyalobera wannyindo okweggala.