POLIISI EFULUMIZZA OLUKALALA

Ebitongole n’amakanisa agawerera ddala ebikumi 468 byebiweereddwa olukusa okukuba ebiriroliro ekiro ekinaakeesa ennaku z’omwezi olumu olw’omwaka ogujja 2016.

Ssekamwa wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga bwayogeddeko ne bannamawulire ku kitebe ky’omu masekkati ga Kampala ategeezezza nti bano baweerddwa n’emitendera awamu n’amateeka aganaakugira ebiriroliro byabwe okugeza bagaaniddwa okubitulisiriza okumpi n’amasundiro g’amafuta n’amalwaliro n’ekigendererwa ekyewala ebigwabitalaze.

Enanga era ategeezezza nti emikebe gy’ebiriroliro gyakutwalibwa poliisi okugituusa mu bifo awanaakubirwa ebiriroliro bino era gikwasibwe abakugu mu ku bikuba okwewala abantu abatali ba buvunaanyizibwa okubyeyambisa obubi.

Ono era asabye abaduumizi ba poliisi mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo okukola obwa Kalondoozi eri ebitongole bino abyaweereddwa olukusa luno balabe na tebayisa lugaayu mu ntegeeragana ezaatuukiddwako wakati waabwe ne poliisi.

Ebimu ku bifo ebyakkiriziddwa wano mu Kampala Enanga amenyeko ebimu okubadde,wooteeri ye Serena,Sheraton,Aya Hilton Hotel,Resort Beach Entebbe,Munyonyo Country Resort n’ekkanisa okuli Miracle Centre,ETM church ku ludda e Ssalaama n’endala.