MUSEVENI AMATIDDE JENNIFER MUSISI

Omukulembeze w’eggwanga lino YKM7 alabudde abamenyi b’amateeka mu kibuga Kampala nti bubakeeredde eyabaalula esiridde oluvannyuma lw’okutongoza kkamera ez’ekika kya buliwoolinkulaba ezimanyiddwanga CCTV mu kibuga Kampala mwonna.Bwabadde atongoza kamera zino mu kulambula Kampala kwakoze Kabwejungira agambye nti zigenda kuyambannyo ku poliisi mu kukkakkanya abamenyi b’amateeka ne bakireereese b’omu kibuga ssonga n’abo ababaddenga basasamaza bannaKampala okwo gattako abatujju ebyabwe bifuuse kkomekkome nga lye baagereesa eridda emugga sinakindi e Bubebbere. Omukulembeze w’eggwanga lino atongozza n’enkulaakulana y’enkulungo z’omukibuga Kampala z’agambye nti kisingako ziteekebwemu bitaala mu kifo ky’enkulungo.Kabwejungira asiimyemu ak’ensusso muwalawe Jennifer Musisi Ssemakula olw’enkulaakulana gyalabye era n’amatira nti ddala okusalawo kweyakola tekwali kubi.