MIKE MUKULA ASUUBIZZA NRM OKUTEREEZA KAYUNGA

Abakwatibwako ensonga mu kibiina kya NRM basambazze ebibadde bitandise okubungeesebwa bannayuganda nti abakungu mu kyo waggulu be basaale mu kibbattaka ekifungamye mu district ye Kayunga.

Bwabadde atongoza ba kakuyege b’ekibiina mu district ye Kayunga abagenda okuwenjeza omuntu waabwe Yoweri Kaguta Museveni akalulu,Captain Mike Mukula amyuka Ssentebe w’ekibiina mu Buvanjuba bw’eggwanga ategeezezza nti abagamba nti ekibiina n’abakungu mukyo bebabadde abasaale mu kuseesanga mu kibbattaka mu district eno okuli ne bannabyabufuzi bakozesa bukozesa mukisa kino kusiiga kibiina nziro enaakikyaya abataka awamu n’okulinnya eggere mu kalulu k’omuntu waabwe naye nga tebiriiko mitwe na magulu.

Mukula ategeezezza abataka mu Kayunga n’e Bugerere awazze wawulirwa endooliito z’eby’ettaka nti mpaawo anaabamalako ddembe lyabwe bannanyini ttaka nti era ensonga zino zonna zaakukolwako babeere n’obwannannyini ku ttaka lyabwe nga bwekiri mu Ssemateeka w’eggwanga.