Lukwago alayidde okukomya okutulugunya bannakampala

Lord Mayor wa Kampala Ssaalongo Erias Lukwago ddaaki asunsuddwa ku kuvuganya ku bwa Lord Mayor bw’ekibuga ekikulu Kampala mu kusunsula okugenda mu maaso mu ggwanga okw’abakungu aba Gov’t ez’ebitundu okuggwa olunaku lw’ankya okusinziira ku nteekateeka z’ekakiiko k’eby’okulonda.

Nga yaakasunsulwa Ssaalongo Lukwago yeeyamye okukolera ennyo bannaKampala awamu n’okuddiza bannaKampala obuyinza bwabwe obubadde butandise okubakwakkulwako bannakigwanyizi.

Ssaalongo Lukwago era agambye nti agenda kutereeza ekibuga Kampala kive mu mbeera mwekibadde kirabirwa ng’empuku y’okutulugunyizaamu bannaKampala kifuuse ekibuga eky’essanyu n’emirembe okwo ssaako okwongera ku mutindo gw’obuyonjo bwakyo kitemagane okukira ssema.