Ssekamwa wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti emmotoka z’abantu aba bulijjo ssizaakukkirizibwa ku biggwa bya Bajulizi e Namugongo ng’ezaabakungu era ezinaabeera ne sitiika z’ekikungu zokka zeezinakkirizibwa okusimba ku biggwa by’abajulizi byombi.Enanga agambye nti abakungu abanaaba bagenda ku kiggwa ky’abakatoliki baakuyitira Kyaliwajjala basimbe ebidduka byabwe ku ssomero lya Namugongo PS ate abanaaba bagenda ku kiggwa ky’akulisitaayo baakuyita Bweyogerere ne Sonde ng’emmotoka za bulijjo okuli ne Taxi ssizaakukkirizibwa kusukka Kireka nga wano wezijja okukoma.
Enanga agambye nti waakuteekebwawo Bus ezigenda okutambuza abantu abaalibaddenga batambulira ku mmotoka za lukale zibayiwe e Kyaliwajjala ng’awasigadde wakati w’ebiggwa wonna waakutambuza bigere.
Ebya Siniya yokuna 2023 bifulumiziddwa.