Kinajjukirwa nti gyebuvuddeko ab’obuyinza mu Arua babadde baategeezezza nti wabaddewo enteekateeka y’olukungaana lw’enjiri mu kibangirzi kino olubadde luviiriddeko okukyusa olukungaana lwa Ret Col Dr Kiiza Besigye wabula aduumira poliisi mu Arua Jonathan Musinguzi ategeezezza nti bamalirizza okuteeseganya n’abakulira kakuyege wa Besigye mu Arua nebakkanya olukungaana lusigale werwabadde lutegekeddwa okubeera wabula nebasabwa lukomekkerezebwe ku ssaawa kkumi na bbiri zennyini awatali kuyisaamu ddakiika yadde kino kisobozese ab’olukungaana lw’enjiri nabo okugenda mu maaso n’enteekateeka yaabwe awatali kutataaganyizibwa.
Omukunzi w’abawagizi ba FDC mu Arua Bruce Musema ategeezezza nti kyamazima ddala n’ekisaawe kya Arua Golf Course kyebabadde baweeredddwa kifundannyo ate kirimu ebirala ebikolerwawo.Ret Col Dr Kiiza Besigye eggulo lya leero lwasuubirwa okukuba olukungaana olisuubirwa n’okumenya emiti mu kibangirizi kino ekya Boma Hill Ground.
Ebya Siniya yokuna 2023 bifulumiziddwa.