BESIGYE AMEZZE MUGISHA MUNTU NAMBOOLE N'AYUUGUUMA

Eyaliko Ssenkaggale w’ekibiina kya FDC Ret Col Dr Kiiza Besigye ddaaki awangudde akamyufu k’ekibiina kya FDC akaakubiddwa akawungeezi kajjo wali mu kisaawe e Namboole bwawangudde munne bwebabadde mu kalulu kano Ret Gen Mugisha Muntu nga Besigye ayodde obululu 718 ne munne neyeefunira 289 era bannakibiina nebalonda ne ba mmemba ba NEC abalala 17.Gen Mugisha Muntu mu kwogerakwe amangu ddala nga Besigye y’akalangirirwa ku buwanguzi n’amukakasa nti obuwagizi bwonna obwabamubadde emabega waakubumuwa kubanga y’agenda okukwatira ekibiina bendera.Ret Col Dr Kiiza Besigye y’agenda okwambalagana ne banne abagenda okuva mu bibiina ebirala mu kamyufu k’omukago gw’ebibiina ebiri ku luuyi oluwabula Gov’t ya kuno olwa The Democratic Alliance era nga yaakalangirirwa aweze nga bwaleeta obuwanguzi nga mpaawo nkonge enaamulema kusiguukulula.Bannabyabufuzi bangi abataalutumidde mwana okuli;Gen David Sejjusa,Loodi Mayor wa Kampala Ssaalongo Erias Lukwago,Omubaka mu lukiiko lw’amawanga gannamukago olwa EALA Mukasa Mbidde,Seya Nassir Ntege Ssebaggala,Betty Kamya owa Uganda Federal Alliance,John Ken Lukyamuzi owa owa CP,Olara Otunnu owa UPC n’abalala.