Bannamawulire basabiddwa okwewalira ddala okwandiika n’okusoma amawulire ageekubidde olubege bwebabanga basaka amawulire g’eby’okulonda.
Bwayogeddeko n’abakulira ebitongole by’amawulire mu ggwanga n’abakulira eby’amawulire ku bitongole bino eby’enjawulo mu lukiiko olutegekeddwa akakiiko k’eby’okulonda minister w’eby’amawulire n’okulungamya eggwanga Maj Jim Muhwezi ategeezezza nti eddembe n’obutebenkevu ebiri mu ggwanga biteekeddwa okukuumwa nga bannamawulire bayita mu kuwandiika amawulire ageetegerezeddwa obulungi n’ekigendererwa ekiziyiza obutabanguko n’okukuma omuliro mu bannansi tuleme kutuuka ku kyali mu ggwanga lya Kenya mu mwaka gwa 2007 ne Rwanda bannamawulire bwebaanenyezebwa okuba n’omukono mu byaliyo.
Mu lukiiko lwerumu Ssaabapoliisi w’eggwanga Gen Kayihura asabye bannamawulire bannamawulire okukola emirimu gyabwe ng’abatendeke.
Ebya Siniya yokuna 2023 bifulumiziddwa.