AB'ENJU Z'ABASERIKALE ABAAFIIRIDDE E SOMALIA BAAKULIYIRIRWA

Eggye ly’eggwanga erya UPDF litegeezezza nti ligenda kukola okunonyereza ku bulumbaganyi obwakoleddwa ku basajja baabwe mu nkambu ye Janaale mu ggwanga lya Somalia obwavuddeko kalunsambulira eyatutte abaana baffe 12 ennyindo gyezirembekera mukoka.Ng’obulumbaganyi buno bwakagwawo amawulire agaabadde gasaasaanidde eggwanga gaalaze nti abajaasi baffe abali wakati w’amakumi 50 – 100 be baafiridde mu mbeteza eno wabula aduumira amagye g’eggwanga aga UPDF ag’oku ttaka Brig Leo Kyanda yatangaazizza eggwanga nti abaana battu 12 be bataalusomose era n’akakasa nti ab’enganda z’abajaasi bano baakuliyirirwa olw’abantu baabwe bano okufiira ku mulimu omutongole.