BANNAMAWULIRE BAKUGIDDWA KU KUSAKA AG'EBY'OKULONDA

Ng’akalulu k’omwaka guno kongeredde ddala okusembera,akakiiko k’eby’okulonda kavuddeyo nekabagawo emitendera egy’enjawulo eginaayamba bannamawulire mu kukwata amawulire agakwata ku by’okulonda nga gyesigamiziddwa ku Ssemateeka w’eggwanga mu kawaayiro ak’amakumi abiri mu obusatu akasooka n’ak’okubiri.

Emitendera gino gyanjuliddwa bannamawulire mu kubangulwa kwebabaddeko olwa leero wano mu Kampala nga Sam Rwakojo omuwandiisi w’akakiiko k’eby’okulonda y’agayisirizzaamu bannamawulire ku lwa banne mu kakiiko kano.

Mugo mubaddemu,bannamawulire okwewalira ddala ebikuma omuliro mu bantu nga bayita mu kuboola mu mawanga ne langi,okwewala okuwandiika amawulire agagotanya eggwanga,bakolenga nga bwebaatendekebwa nga bagondera amateeka g’omulimu gwabwe ate bawenga bannabyabufuzi bonna omukisa gw’omwaganya ogw’ekyenkanyi baleme kutuuliranga bamu ate bayitimule abalala.