Omulimu omulala Omuganda gwakoledde ebbanga lyonna kyenkana ekiseera kyamaze ku nsi gwe gw’obulunzi Omuganda mwaggyenga enva,emmere(Amata),ettutumu,amaliba geyayambalanga n'ebirala.
Omuganda kuva dda azzenga muyiiya era nga mutetenkanya ggwe eyayambalanga amaliba g'ebisolo!!,eyeeyambisanga Amaliba okuwunda ebibye ne bifaana bulungi okukira ebirala!!
Omulembe gw'engoye nga tegunnajja Omuganda yakunyanga Amaliba n'agambala n'abikka ebitundu by'omubiri ebitaasaananga kwolesa ate n'ageeyambisanga ne mu nsonga z’eby’ennono,ssaako okugatuulako ng’Emikeeka n’okugaseresa amayumba.
Omuganda era amaliba gano yagatonanga ng'ebirabo eri abaamusanyusanga ng'amalirizza okugakunya.
Mu mulimu gw’obulunzi guno Omuganda yawasangamu abakazi,yawangayo Ente ng’Omutwalo gw’abakulu mu kuwayira.Mu mulimu gw'okulunda guno Omuganda yeeyambisanga muggo na mimwa gye ng'ayita mu kufuuwa Empa n’okukooloobya nnyimba ng’eno ebisolo bwe birya.
Okuyimbira ebisolo kigambibwa kibyongera okubeera ebikkakkamu ate ebisanyufu nti olwo wamma ggwe ne biryoka byeriira omuddo okukira bye wali olabye.Ebisolo Omuganda byeyalundanga byakulemberwangamu Mbwa olwo ebirala ne biddirira okuli Ente,Embuzi,Endiga,Obumyu,Obuberege n'ebirala okwo netussaako ebinyonyi eby'enjawulo omuli Enkoko,Ssekkokko,Enjiibwa,Embaata n'ebinyonyi ebimu bye twakula tumanyi nti bya mu Nsiko ng'Enkofu,Enkusu,Nnyonyimuzinge n'ebirala.
Omuganda n'obulunzi