Mu kawaayiro kaffe kano ak’eby’ennono,omugoberezi waffe omulungi nsaba leero okkirize njogereganyeko naawe ku ntegekera y’obulamu obw’omu maaso enaakuwa emirembe,eddembe,n'essanyu ery'ekiseera ekiwanvu.
Weewaawo ffenna munsi twagala nnyo okubeera obulungi era tukola byonna bye tusobola okulaba nga tutegekera obulamu bwaffe obw’omu maaso,waliwo byokola ng’oluubirira kutereeza mbeera gyebunajja eby’embi n’oba ng’oyonoona bwonoonyi naye nga ggwe tomanyi era ng’olaba otereeza.
Emirundi mingi byonna byetukola munsi muno nga twagala okutereeza embeera bitera kutandika bulungi era obuzibu obubibeeramu tebutera kutweyolekerawo,naye bwe busumulula, weevuma byonna byozzenga okola.
Sooka otunuulirenga obuwangaazibwo n’eddembe mu bulamu obulungi bwoyaayaanira,bwoba tobirengerayo,ne bwoba olengerayo ssente n'ebirungi ebirala, ekyo kyobeera obadde oyagala okukola kireke abalala bakikole.
Abantu baffe bangi bayaayaanidde obulamu obulungi era obulimu ssente ennyingi ne bawunzika nga beetadde miguwa mu bulago nga tebamanyi,bantu bannaffe bangi nnyo abagagga abavundu naye nga tebeebaka,bangi abatalina yadde omwana omu bwati,olw’eby’enfuna,basajja bannaffe bangi abatalina mukyala atuula waka kumala mwaka ng'entabwe eva ku bye baakola nga banoonya ssente ezo ennyingi ennyo zoolaba balina.Tulaba mayumba na mmotoka za bbeeyi,tulaba bikomera gaggadde ne bitumalamu naye ng'ekiyitibwa essanyu mu maka ago baalisiibula.
Obulamu obwo bwoyaayaanira okutuukamu,kolerera bukolerere,mu makubo amatuufu era agamanyiddwa,togezaako okwagala okugwamu obugwe,ojja kwejjusa oluvannyuma.
Onaaganyulirwamu wa ng’ogaggawalidde emyaka ebiri oba gumu ekiseera ekisigadde mu bulamu bwo bwonna n’obeera mwavu afuumuuka n’Evvu!!
Omuganda agamba nti ''Ekikula amangu kifa mangu.''
Omuganda n'obulunzi