Lwaki waalikulizza abaana bo mu lulimi oluzaaliranwa n'ennono zaabwe?

Akatabo akamu ku bulimu ebikwata ku mannya Amaganda mu nnono zaago ez'enjawulo
Image: Micheal Buzzebulala Nsimbi

 

Mu kawaayiro kaffe kano ak’eby’ennono,omugoberezi waffe omulungi nsaba leero okkirize njogereganye naawe omuzadde akozesa ennyo olulimi Olungereza awaka ng’eno bwokuza abaana nti eyo nsobi munnange,manyisa abaanabo olulimi lwabwe oluzaaliranwa tomanyi binaddirira nkya,ennimi endala tetuzirinaako mutawaana naye bawe omukisa batandike n'olwabwe ziri ka baziyigire ku ssomero.

Kiswaza nnyo bwoba ng'obadde tokirabangako abagenyi ab’eggwanga lyo ne bakyala mu makaago abaana bo ne bavaayo okulamusa abagenyi bano abayinza n'okuba ab'enganda zaabwe,ng'olulimi lwabwe tebalutegeera,ng’Olungereza n’ennimi endala byabawabya dda.Kino oyinza okukiraba ng'eky'ekitiibwa nti era abaana bo batenderezeddwa nnyo okubeera abasomi naye mwanawattu kiswaza.Kiraga nti ggwe tolina mulandira,kibuyaga yenna bwajja akwera n'akutwala gyayagala ogende,beerangako ne kyonywereddeko,Omungereza bwaliva eri n'akutegeeza nga bwali kitaawe nga naawe otikiza!

Sooka oyigirize abaana bo olulimi lwabwe oluzaaliranwa olwo Olungereza lulyoke luddeko,sso tosoosa Lungereza oluvannyuma obayigirize olulimi lwabwe,lujja kubalema,batandike okwogera olulimi lwabwe mu ngeri y’Ekingereza.

Kiringa ekitaliimu nnyo makulu kuyigiriza baana nnimi zaabwe nzaaliranwa naye kikulu nnyo,tulabye bazadde b’abaana Abaganda abazaaliddwa ebunaayira nga bajja kuno bafune ebinaabayamba okuyigiriza abaana baabwe olulimi lwabwe oluzaaliranwa.

Okimanyi nti ekimu ku bisinze okuviirako abaana baffe abamu obutayita bulungi bye basoma,kusomesebwanga mu nnimi zitali zaabwe,ze batategeera bulungi nnyo? Obadde okimanyi nti amawanga g'abeeru agasinga  gasomesereza mu nnimi zaago enzaaliranwa ne kibayamba okutegeera buli kimu nga bwekyalibadde kitegeerwa! 

Tandika leero okuyigiriza obulungi abaanabo olulimi lwabwe naddala abo abaakomyewo awaka mu luwummula.Kino ojja kukisobola nga naawe kennyini awaka okozesa lulimi lwammwe oluzaaliranwa.Ekimu ku bisinze okufeebya ennono zaffe wano,kukopperera ate nga mwanawattu bo betukopperera ebyabwe baabikwata bukusu tebabikyusa.