Omuganda kuviira ddala mabega yategeererawo omugaso gw’okuzimba ennyumba mwanaabeeranga n’abantu be.Ennyumba zino Omuganda mu kuzizimba yeeyambisanga ettaka ery’Akadongo,Emmuli,Ebinsambwe,Ebyayi,Empagi,Essubi n’enjoka z’ebyayi by'Ebitooke bannabuddu ze bayita Entuluggano mu kusereka.Ebyeyambisibwa mu kuzimba bino byasinziiranga ku kitundu oba ekifo omuntu weyabanga agenda okuzimba,ebitundu ebimu tebyabeeranga na bimu ku ebyo nga kale abazimba beeyambisa ekintu ekirala.Okugeza mu kusereka ennyumba mu Ssaza lye Buddu,baasookangako Ntuluggano oba Enjoka z'Ebyayi nga bwe ziyitibwa mu Bulemeezi olwo ne balyka baaliirirako Essubi.
Olw’okuba ennyumba z’omuganda zaabeeranga za ttaka zaawangaalanga nnyo era zaaleranga abaana n’abazzukulu ab’emijiji egy’enjawulo.Waabeerangawo abagezigezi abaalinga bakuguse mu kuzimba ennyumba ezo,bano obw’olumu baaweebwangayo akasiimo ne bazimbira abantu abalala amayumba.Akasiimo kano emirundi egisinga okuviira ddala ku ntandikwa,tekaabanga ka ssente ng'ensi bweri leero,omuntu yayinzanga okukuwaayo Ekita ky'Omwenge ne mukinywa ne banno bwe mwazimbanga,omulala yayinzanga okukuwa emmere embisi,n'omuzimbira ate omundi nnannyini nju ezimbwa yayinzanga okumuwa Muwalawe amuwase,n'ensiima endala.
Mu Buganda omuntu bweyabanga azimba ennyumba abataka baakungananga ne bamukwasizaako n’atamenyeka yekka olwo naye n’akolanga bwatyo eri bataka banne abaabanga bazimba,enkola eno yayamba bangi abaalinga batamanyi kuzimba,okuyiga omulimu guno ate n'okuzimbirwa ennyumba ennungi era engumu.
Olw’obuyonjo Omuganda bweyasoosowazanga okuva edda,buli maka gaabeeranga ne Kaabuyonjo abantu baamu mwebaakyamiranga oba mwe beeteewululizanga,lino lyabeeranga kkatala eri buli maka okubeera ne kaabuyonjo n’ebyeyambisibwamu.Mu ngero z'Omuganda ezitaamuvanga mu kamwa n'olwa 'Akeezimbira tekaba kato terwabulangamu,Olugero luno mu bujjuvu lugerwa nti ''Akeezimbira tekaba kato,Akasanke okukakwata ogenda osooba''
Omuganda n'obulunzi