Mu kawaayiro kaffe kano ak’eby’ennono,omugoberezi waffe omulungi nsaba leero twegiriisirize mu kwogera ku Nnaalinnya,Omumbejja asika n’Omulangira abeera alondeddwa okulya obwa Kabaka.
Mu nnono zaffe wano,omukazi yenna asika n’Omusajja ayitibwa Lubuga era buli musajja eyali asumikiddwa okusikira mukaddewe mu kiti kyonna yasumikirwako Lubuga ng’omuyambiwe kubanga Omusajja tasobola kwemalirira mu byonna.
Kabaka bweyabangako ensonga z’ennono ng’akiika mu bibbo bya ba Jjajjaabe ab’embu zonna,kino teyakikolanga bwomu,yabeeranga ne Lubuga we.
Ggwe eyagoberera embaga y’amatikkira g’Omuntanda ekyasembyeyo walaba Omukyala eyali akubidde Olubugo okutuuka mu kifuba waggulu,ye Lubuga wa Magulunnyondo Ronald Muwenda Mutebi II.
Ebyafaayo biraga nti Omumbejja Damalie Nkinzi Nnaalinnya wa Ssekabaka Muteesa I ye yasooka okuyitibwa Nnaalinnya.
Omumbejja ono yali wa lulembe nnyo mu byonna,kale Kabaka bwe yamuyitanga ku nsonga ng’ezo ng’asanga Ebibbo biri mu ddiiro.Wano Kabaka weyagambiranga nti ‘’Hmm Lubuga wange alinnya mu bibbo’’ kale naye bweyabisanganga mu ddiiro ng’agamba Kabaka nti ‘’Nnaalinnya mu bibbo?’’.
Ku njogera y’omumbejja Nkinzi eyo ey’okulinnya mu bibbo Kabaka Muteesa kweyasinziira okumuyitanga Nnaalinnyamubibbo omwaggyibwa ekitiibwa kya Nnaalinnya erinnya Lubuga ne liseebengerera.
Ebitiibwa ekya Namasole n’ekya Nnaalinnya biri kumpi nnyo ne Kabaka era bano nabo babeera mu Mbiri zaabwe.
Omuganda n'obulunzi