Omuganda n'okukomaga

Olubugo nga balwanika
Image: Yintaneeti

Omulimu gw’okukomaga gwali mulimu gwa ttutumu ddala eri Omuganda kubanga yaggyangamu ebyambalo bye yayambalanga ng’akyali mulamu ne bweyabanga anyweredde olugendo lw'Ezzirakumwa yayambazibwanga Mbugo n'aggumira empewo n'etamufuuyira mu nsi eyo.

Omuganda yasusumbulanga (kye bayita Okusubula)  Olukuta ku miti okuli Omutuba n’Omukookoowe bannabuddu gwe bayita Omuserere n’akomagamu,Ebitentegere,Ebikunta n’Embugo ez’ebika eby’enjawulo era ebya langi ez’enjawulo.Nga yeeyambisa Ensaamu (Ekiti ekyabajjibwanga n’Enjola ez’enjawulo ezaakyetooloolanga) yakomagiranga ku Mukomago n’akola eby’okweyalira,eby’okwebikka,eby’okwambala n’eby’okutona Embuga,eby’okweyambisa mu kuwunda n’ebirala.

Teweerabira nti n’Embugo ezaaterekwangamu abantu baffe abaabanga bawummudde egy’ensi nazo zaakomagwanga bukomagwa ng’ezo era ze zimu.Embugo ebiro bino tezikyalabwa nnyo olw’eddiini z’Abeeru ezaalaga ng’eby’ennono zaffe wano bwe biri ebya Ssetaani era abaana bangi bakuze bazitya kubanga zirabwako mu kuziika ssong’edda ze zaakolanga ng’enziji z’ebisenge ebyasulwangamu mu mayumba,zeeyambisibwanga ng’enziji ku mafumbiro ne zeeyambisibwa ne mu kubikka Enswa Ennaka ewaffe mu Ssaza lya Beene erye Bulemeezi mu Balyannaka.

Abakomazi mu Kkomagiro nga bakomaga
Image: Yintaneeti