Mu by’ennono,omugoberezi waffe omulungi nsaba leero okkirize njogereganye naawe mukwano gwange atannafuna mubeezi,nti bwotandikanga okunoonya munno bwe mulibeera ebbanga lyonna,weegenderezanga,tobangako ekikupapya kyonna,noonyanga muntu wa munda mu muntu oyo,sso ssi oyo gwolaba kungulu.Bwolisikirizibwa endabikaye oba obulungi bwe naddala ggwe omusajja oba obugagga bwe,njogera naawe kati ggwe omwana omuwala,okyayinza okwesimira entaana ne weeziika ggwe wennyini nga tomanyi.
Omuntu ow’omunda mu munno oyo nkimanyi nti ssi mwangu wa kulaba naye kiwe obudde Omuntu ow’okungulu oyo aleme kukuwabya,olabe era weetegereze omuntu oyo ow'omunda kubanga gwe weetaaga.Jjukira mwana wange obulungi bw’omukyala oyo ssi bwakusigala nga bwomulaba ebbanga lyonna,bwanaazalaayo ku baana,bujja kunaabuuka n’obugagga bw’omusajja oyo obukusikiriza bukyayinza okugenda kubanga Ssente mugenyi,n’owunzika ng’osigadde n’oli omuntu ow’omunda,kale tunuuliranga omuntu oyo mu muntu oyo atakyuka.
Bwonaamala galonda muntu,oyinza okuwunzika ng’olondedde abaanabo Maama gwebalyevuma ebbanga lyonna oba Taata gwebalyevuma ebbanga lyonna,jjukira ggwe olondera abaanabo alibeera Taata waabwe oba Maama waabwe,mu ekyo abaana tebalinaamu mukis,beesangira eyo ng'yo ye Taata oba Maama.
Omuganda n'obulunzi