Enjawulo y'ekyengera n'ekivundu

Ssukaalindiizi ng'akyali mubisi n'ayengedde
Image: Yintaneeti

Omuntu atandika obutandisi okuwulira ekigambo Kyengera obwongo bumugamba kyalo kye Kyengera ekisangibwa mu ggombolola ye Nsangi mu district ye Wakiso,kino kye twogerako wano kirala weewaawo nga kyaliba n’oluganda n’erinnya ly’akabuga ako ka Kyengera.

Nsaba nzikiriziganye naawe asoma bino nti wabeerawo ekiseera ebibala webikulira era ne byengera mu bungi n’abaalibiridde ne balemererwa okubimalawo olwo ebisinga ne biva mu mbeera eriibwa ne bidda mu mutendera oguddirira okuvunda.

Ebibala eby’engeri zonna bwe bituuka mu mutendera guno ennyindo zaffe akawoowo k’ebibala ebyo kezitandika okusika kayitibwa Kyengera sso ssi kivundu ng’abasinga bwetubaddenga tukiyita.Mu byalo eyo ogenda n’oyita wansi w’ekikolo ky’Omuyembe nga wonna wazindiddwa Ensowera n’Enjuki ebijja olw’akawoowo ako ggwe n’ogamba mbu wulira ekivundu ky’Emiyembe,ssong'ekyo bakiyita Kyengera kya miyembe.

Bwe tuba twogera ku mbeera eyo tugamba nti wano wawunya Ekyengera ky’Emiyembe,ekyengera ky’Amapeera,ekyengera ky'ebitaffeeri,ekyengera kya Ffenensi n’ebirala.

Ekivundu kubeera kuwunya kwa bintu birala ebiba bitakyalina bulamu era nga biruddewo ng'obulamu bubiweddemu,nga bivunze.Mukwano tukozesenga ebigambo ebituufu tuleme kulabwa bulala ate tukuume olulimi lwaffe.