Mu kawaayiro k’eby’ennono,omusomi waffe omulungi nsaba okkirize leero njogereganye naawe eyeeyita omugezi ekimala atawuliriza bantu banno.
Obadde okimanyi nti okuwuliriza kye kimu ku bisumuluzo by’okuyiga? bangi kye beeyambisizza okweggulirawo obuwanguzi? Abantu bangi tebawa matu bantu bannaabwe kubawuliriza,beewulira era ne beewuliriza bokka.
Ggwe agoberera bwoba ng'oyagala okuyiga,wulirizanga bantu banno kubanga babeera n’eby’okuyiga bingi,biyinza okujjira mu mboozi endala eziteefaananyiriza kubaamu bya kuyiga nga kale bwotabawuliriza oviirayo awo ssong’ensi eno yeetaaga kuyiga.
Ggwe mukwano gwange atayagala kuwulirizanga bantu banno gyonaakoma okukola otyo,gyogenda okukoma obutayiga n’obutafuna,naawe atwala bantu banno ng’abatalina magezi,ensi erikwejjanjabira.
Omuganda n'obulunzi