Mu kawaayiro k’eby’ennono,omugoberezi waffe omulungi nsaba okkirize leero nkusoomoze,obuuzizza ku banno abo bookola nabo woobasisinkanidde oba otandikidde we wakomye olunaku lwa jjo? ggwe munnange atambula, boosanze obabuuzizzaako,oba oyiseeko bayite?
Mukwano gwange kyannaku nnyo omuntu bwasanga bantu banne n’atababuuzaako ssonga mubeera temwasuze mwenna era mubeera temusiibye mwenna,lwaki toyagala kumanya banno bwe baasuze oba bwe basiibye? ggwe ani atayagala kumanya? Lwebulikya n'oyagala banno bategeere bwewasuze nabo ne bakulaga nti tebaagala kumanya,olimanya bwe kitali kirungi.
Ggwe omuntu bwoba olemereddwa okumanya obukulu bw'okulamusa bantu banno,labira ku bisolo olyoke otegeere nti okulamusa bantu bannaffe kya nnono.Ebisolo bwe bisisinkana, ngamba ggwe omwegendereza era abitunuulira otera okubiraba nga byewunya ku mimwa,ye nnamusa yaabyo.
Ebisolo Lugaba bye yatuwa okufuga n'okulabirira bwe biba bikyakuumye ennono y’okulamusaganya,ffe abantu abasuubirwa okubisinga amagezi kiki ekyatutuukako?
Tunuulira ebisolo eby’ekika ekimu nga bisisinkanye,okugeza Embwa n’Embwa,Endiga n’Endiga,Embuzi n’Embuzi,Ente n’Ente byeramusaako.Muntu munnange ggwe atalamusa ku bantu banno osoomozeddwa,olwo tukitwale nti ensi otambulira ku ya njawulo ku balala? Omuganda yalugera nti; ''Luganda lwa Mbwa,lulamusa na mannyo''.
Omuganda n'obulunzi