Mu kawaayiro k’eby’ennono zaffe,omusomi wange omulungi nsaba leero okkirize njogereganye naawe mukwano gwange alemeddemu embeera z’okuwalaggana ne bantu banno nti olimba,sumulula omutima gwo,abo be balikubeererawo ng’ossizza ogw’enkomerero,be balikuziika.
Wali obaddeko awo ne weebuuza ku ggwe n’oyo gw’osibira obusungu oba gwowalana ani akutuka? ani aggwaawo? ani amenyeka?Kikole leero,ggwe abadde takikolanga etegeere bwe weekutula buli lw’osibira omuntu omulala obusungu,otegeere bwe weeremesa abantu abalala buli lwobeerako gwosibidde obusungu era otegeere bwe weefiiriza ebirala byonna Katonda bye yaalikugguliddewo ng’oli awo weesibye obwongo.
Nkutegeeza mukwano gwange nti ggwe okutuka,ggwe okaddiwa,ggwe osaanawo ate ng’oli gwonyiigidde n’oluusi tamanyi oba nga n’olumu yeeyisa bwatyo onyiige ye anyumirwe, owange watonderwa kukola bwa Kazannyirizi? Towalaggana na bantu banno,obeetaaga mu kiseera kino ne gyebunajja newankubadde nga tokimanyi.
Omuganda n'obulunzi