Okuwaatula n'okuggumiza

Omuti oguggumizza oluvannyuma lw'okuwaatula
Image: Yintaneeti

Mu biseera eby’omusana ebirime bingi bikendeeza ku nfulumya y’amazzi gaabyo mu byo kibiyambe okusigala nga tebirina buzibu bwa bbula ly’amazzi mu kiseera ekyo okutuusa enkuba lweddamu okutonnya.Ebirime bino byeyambisa akakodyo k’okusuula ebikoola ebimu ne bisigazaako ebikoola bitono ate ebikyali ebito olwo enfulumya y’amazzi n’ekendeera,jjukira ebimera amazzi bigafulumiza mu bikoola,gye bikoma obungi,n’obungi bw’amazzi agafuluma okuva mu kimera gyebukoma era ebikoola bino bwe bibeera ebitono,gafuluma kitono.

Ekikolwa ky’ebimera n’okusingira ddala emiti eky’okusuula amakoola mu bungi mu kiseera eky’Ekyeya Omuganda kye yatuuma Okuwaatula.Okuwaatula oluusi kyeyambisibwa n’abantu abagyozi bwe babeera bagezaako okulaga nti bannaabwe baweddemu,okugeza oli ayinza okugamba munne nti ‘’waategedde? gundi yawaatudde’’ ng'ategeeza nti yayavuwadde.

Ku luuyi olulala,Okuggumiza kwe kuddamu endasi, ku luuyi lw’ebimera ng’emiti.Enkuba bweba enaatera okutandika okutonnya ,ebimera bizzaako amakoola gaabyo nga byeteekerateekera omulimu gw’okufulumyanga amazzi aganaabanga gabisusseeko mu biseera by’enkuba.Emiti egitera ennyo okulaga obulungi okuwaatula n'okuggumiza tusobola okukuwa eky'okulabirako ky'Omuvule n'omuganda yagugererako olugero olugamba nti ''Abasajja Mivule: giwaatula ne giggumiza'' ekyalitegeezezza nti Omuntu akyuka n'embeera ebeerawo,naye asigala ye y'omu.