Ebigambo bino byeyambisibwa mu lulimi lulunzi,okwawukanako n’ebyasoose eby’omululimi olulimi.Okukama mulimu gwa bulunzi,ebisolo ebiggyibwamu Amata ng’Ente,Embuzi n’ebirala bye bikamwa bwe bibeera bizadde ng’eno bwe biyonsa n’abaana baabyo,kino kikolebwa okumala ekiseera.
Ekisolo amabeere gaakyo agavaamu Amata gatuusa ekiseera ne gakendeera mu kukolebwa kwago ebiseera ebisinga abaana b’ebisolo ebyo bwe babeera bagenze bakula era nga batandise okufuna ebibaliikiriza ebirala,ekyo ky’ekiyitibwa Okukamiza.
Omuganda alina engero zeyagera ezeekuusa ku kukama n'okukamiza okuli; ''Ekiyinula Ennyana ....'' oluggwaayo nti kiva mu 'kibeere' ne ''Akateesize tekakuba bbiri''.
Omuganda n'obulunzi