Omusomi waffe nsaba leero okkirize njogereko naawe omukyala omufumbo, naawe alina gwoyagala ku ndaba munno gyakulabamu.Bwe nkubye ekitangaaza nnengedde nga waliwo obwetaavu bwokwogera ku nsonga ezo kubanga ge maka era bwe bulamu.
Wali obaddeko awo ne weetunuulira ng’omu ku bayinza okuviirako omwami wo okukugattako omulala oba nedda?Nnaalikusabye ofune obudde weetunuulire ggwe ng'omuntu,otunuulire ne ku bakyala abalala olabe bwe bakola ebibawangaaliza mu butagattwako era mu mukwano ne ba bbaabwe nebakuuma obufumbo bwabwe nga tebutataaganyiziddwa.
Bwonaamanya abakyala abo bwe beeyisa n’abaagalwa baabwe kijja kukuyamba okumanya bwoyinza naawe okuvuganyiriza balo n'otamutwaliranga awo,kino ne kikuyamba n’atatunulako bbali nga ne bwaba atunuddeyoko ayanguwa okudda gyoli.
Leka kulekera munno myaganya giyinza kumukutwazaako oba kukugattika.Weebuuze,olowooza balo omufaananira otya buli lwakutunulako? Addamu maanyi oba gamuggwaamu buli lwakutunuulira? Byomukolera osuubira bikyamunyumira oba akulaba nga ggwe eyeekoza? ,munno omufaako oba owoza tukulanye?
Tunulako mu kisenge kyo,kiyonjo? Ggwe ng’omuntu oli muyonjo? Oba obuyonjo bwakoma waakajja? Omubiri gwo tegumumalaamu maanyi buli lwalowooza ku kubeerako naawe? Omanyi waliwo ebintu bingi ebitta amaka naye nga tebyatuukirizika ssinga omuntu abibuuzibwa,byetunuliremu mwannyinaze,mukoddomi wange oleme kumuwa mwaganya gwetooloolamu.
Omuganda yalugera dda nti ‘’Ow’Ebbango bwotamuwemukira teweebikka’’ nsaba okitegeere nti nange nkuwemukidde otere otereeze amaka oleme kulangira balo bwenzi nga ggwe Kisumuluzo ekyamuggulirawo.
Omuganda n'obulunzi