Ebika by'Obutiko

Akatiko Akanakanaka ekimu ku bika by'Obutiko ebimera mu Balyannaka e Bulemeezi
Image: Yintaneeti

Obutiko bwa bika bingi era nsuubira kumanya kwaffe kwe kuyinza okutusalako.Waliyo ebika by’obutiko ebiriibwa n’ebitaliibwa ate n’ebaayo obuliibwa awatali mizizo olwo n’osangayo obuliibwa obw’emizizo.Ka tukumenyere ku bika by’obutiko obuliibwa,oluvannyuma tukubuulire ne gye bumera.

Tulina obubaala,Obunakanaka,Obutundatunda,Obuwawuwawu,Obusejjeresejjere,Obutengotengo,Gudu,Empeefu,Nnakyebowa, Nnakifannyagala n’obulala.Obutiko Obubaala bumera ku kiswa ekimanyiddwa ng’Ekibaala era bwe buno bwetwagambye nti bwaganja nnyo wano mu Buganda olw’eddowo lyabwo nga bufumbiddwa bulungi,obutiko buno bubeera Bweru mu langi nga butono ddala,bumera ku Nkanja za kibaala.

Obutiko Obunakanaka bumera mu bifo awatera okubuuka Enswa Ennaka n’okusingira ddala mu Masaza ga Buganda okuli Bulemeezi ne Buddu,obutiko buno bubeera bunenenene,bumyukirivu mu langi ate nga bulina emikonda miwanvu,buno bumera buva mu ttaka wansi ate tebumera bungi nnyo mu kifo,bumera butonotono ekibwawula ku Bubaala obumera obungi ennyo.Obutundatunda nabwo kika kya Butiko,buno butera kumera mu kitundu awali Ekiswa Ekitunda kyetwagamba okubuukamu Enswa Entunda.

Tulina Obutiko Obuwawuwawu,buno nabwo bumera nnyo okwetooloola ekiswa Ekiwawu omubuuka Enswa Empawu ze twagamba nti zibuuka bukeeredde ddala.Buno nabwo buganzi nnyo eri ababumanyi wano mu Buganda.Lindirira akatundu kaffe akanaddirira,tujja kukubuulira ebika by’Obutiko ebirala omuli Obusejjeresejjere n’ebirala.