OKuggya Obutiko

Obutiko bw'omu nsiko
Image: Yintaneei

Omuganda kuva dda yawoomerwangannyo Obutiko olw’eddowo lyabwo mu nva ng'ez'Ebinyeebwa n'endala.Obutiko Omuganda bweyaggyanga era bweyalyanga bwabanga bwa bika bya njawulo era buno nga bwekuusa ne ku Nswa era Omuganda zaawoomerwa okukamala anti obusinga bumera ku Biswa oba mu mbuga zaabyo.

Obutiko obwasinga okuganja ennyo wano mu Buganda n'ebweru wa Buganda bwe Bubaala obumera ku kiswa Ekibaala era buno bweyambisibwa ne mu mikolo gy’Omuganda egy’enjawulo.Obutiko buno Obubaala bulimu n’eddagala eriwonya awamu n’okutangira ebirwadde.

Omuntu yenna abeera akuula Akatiko nga bwekyalibadde aggya Omukonda gwako mu ttaka sso tagukuula bukuuzi aguggyayo oba agusowolayo.Awonno Omuganda yaaliba nga weyasinziira okugamba nti Obutiko baggya buggye sso tebabukuula kubanga tebulina mirandira,ebimera ebirina emirandira bye bikuulwa.

Olw’obuganzi bw’Akatiko eri Omuganda,yakagererako n’engero,ka tukuweeko lumu wano olwa ‘‘Omukwano Butiko: bwoggya tokkatira’’,amakulu nti eby’ebbeeyi byonna tebyetaaga kifuba,bwongo bwokka ,omukwano tegukakwa.Tujja kugenda mu maaso n’ebika by’obutiko ebirala na wa gyebukuulwa.

Obutiko buno Obubaala bulina Omuzizo omukulu gwa butaggyibwa oba kukuulwa ba mu nnyumba emu,kuyitibwako baliraanwa,wano tuyigirawo empisa y'okugaba nti ne bwoba obukudde bwomu,tobulya wekka,ogabirako baliraanwa.Olw'obuwoomi bw'Akatiko mwanawattu n'abazungu baagunjaawo enkola ebulima era na wano bwatuuka dda era buliibwa weewaawo nga tebugobereza bwaffe bunnansangwa.