Okwengera n'okutuuka

Ebijanjaalo ebituuse nga bikunguddwa
Image: Yintaneeti

Mu lulimi lwaffe olulimi lwetuzze tweyambisa,okwengera kitegeeza okutuuka okuliibwa.Kino kyeyambisibwa nnyo ku birime ng’ebibala omuli Emiyembe,Ffene,Amapaapaali,Enkenene,Ebitaffeeri,Ensaali n’ebibala ebirala.

Okwengera era kweyambisibwa ne ku birime ebirala ng’ebijanjaalo,Kasooli,Amenvu,Amatooke n’ebirala.Wabula Omulimi bwayogera ekigambo ‘Kwengera’ ng’ategeeza Kasooli abeera ategeeza nti atuuse n’Ebijanjaalo kitegeeza bituuse okuliibwa,anti byo bino bisooka kufumbibwa tebiringa biri bye tusoose okwogerako ebiriibwa nga bibisi.

Kasooli bwazikiriza nga bwetwakyogerako jjuuzi,omutendera ogutera okuddirira gubeera gwa kwengera sso n’Ebijanjaalo bwe byengera emirundi egisinga n’ebikoola byabyo byengererako era bwoyita mu musiri gw’Ebijanjaalo n’osanga ng’ebikoola byonna byengedde,kuula bukuuzi otwale eka mususe mufumbe era mweriire,nabyo bibeera bituuse okuliibwa.

Weegendereze:Waliwo ekiwuka ekirya Ebijanjaalo,ebikoola byabyo ne byengera ng'ebijanjaalo byennyini tebinnatuuka kwengera,beeranga mwegendereza ku biwuka eby'engeri eyo,towunzika ng'oyitiddwa Mulyabuto. 

Kasooli ayengedde oba atuuse okuliibwa
Image: Yintaneeti