Okukuba akaleka

Ebinyeebwa ebikyabulamu n'ebikuze ne bisolwa oba ne bikungulwa
Ebinyeebwa ebikyali n'ebisoleddwa Ebinyeebwa ebikyabulamu n'ebikuze ne bisolwa oba ne bikungulwa
Image: Yintaneeti

OKUKUBA AKALEKA KYE KIKI?

Mu lulimi olulimi,okukuba akaleka kitegeeza kukula,Ebinyebwa bye bikuba akaleka nga bwetwalabye Kasooli mu kuzikiriza.Bwetuba twogera ku muntu bwetugamba nti gundi akubye Akaleka,tuba tutegeeza nti akulidde ddala era ameze Envi,ke kaleka.

Ebinyeebwa bwe bikoolebwa nga bwetwalaba ebirime ebirala,nabyo byongeramu amanyi mu kukula era emirundi egisinga bikoolebwa birina n’ebimuli.Mu kukoola Ebinyeebwa,Omulimi abitemera ettaka jjukira nti byo bissiza wansi mu ttaka,kino kikolebwa waleme kubeerawo binyeebwa biteekera ku ngulu.Bwewayita ekiseera nga bigenda bikula,ebinyeebwa bino byengera ebikoola era bwewayita ekiseera ekitali kiwanvu ebikoola ebibadde byengedde (ebya Kyenvu) bigenda bizimeera mu langi,bifuna obutonnyeze obwa kigubaguba oba kitakataka n'oluvannyuma ne bigenda nga bikala.

Langi ya kitakataka eyo gye twogeddeko kye tuyita Akaleka,kale ebikoola by'Ebinyeebwa bya gundi bwe bikuba langi eyo ne tukiyita okukuba Akaleka.Akaleka kano bwe kamalako  ekiseera kyako ebikoola bikala kabonero akakakasa nti bituuse okukungula.Era bwe birwisibwa mu ttaka nga tebisoleddwa oba okukungulwa,bitandiikiriza okulimereramu era bigenda okukuulwa nga waliwo Emitunsi egifulumye ebikuta ky'ebinyeebwa nga bimera.Olwo byo bibeera bitegedde nti ekiseera kyabyo ekisoose mu bulamu bwabyo kiweddeko kati mujiji gw'abaana ba byo,y'ensonga lwaki bitandika okumera.

Omulimi asaanidde abisolenga nga tebinnamera,anti bibeera byonoonese.