Okuttira mu bulimi


Kasooli awo azikirizza,enviiri oziraba nga zikyuse mu langi,akuze
Okuzikiriza Kasooli awo azikirizza,enviiri oziraba nga zikyuse mu langi,akuze
Image: Yintaneeti

 

Ekirime kyaffe ekya Kasooli kye twakozesezzaako,bwekiteekako eminwe nga bwetwalabye kye twayise Okuweeka,wayita ekiseera nga kiikyo okusinziira ku kika kya Kasooli gwobeera wasimba n’azikiriza.

Akabonero kano  kalaga nti Kasooli atuuse okulya eri abakeeze era wano Omuganda alinawo Olugero olugamba nti ‘’Nnyini Kasooli y’amuwa Abaayi,nti atuuse Ekiryabaayi’’ Ekitegeeza nti atuuse ababbi webamuliira.

Kiki ekyaviirako kino okuyitibwa Okuzikiriza? Twakugamba nti Kasooli assaako Enviiri enjeruukirivu buli awanassa Omunwe wakati ku kikolo sso ssi wansi ku kikolo,Enviiri zino bwezimaliriza ogwazo ogw’okuwakisa Ekikongoliro okuva ku Luyange waggulu,zigenda zizimeera mu langi (ziva mu bweru ne zigubirira) ng’eno empeke bwezikula ku kikongoliro.

Bwewayita ekiseera ekigere Enviiri ezo zigubira ddala ne zizikira (Okuzikiriza) olwo nga Kasooli akulidde ddala.Omuganda era yagera olulala nti ‘’Nnyini Kasooli tamulya makoola,amulinda n’assaako’’.