Nga bwetwakozesa ku ky’okulabirako kya Kasooli mu masimba,ka twogere ku kuweeka.Ebirime byonna olubikoolera bisitula amanyi naawe kabirima n’osiima era tewayita kiseera kinene nga tabinnateekako,wano Kasooli waaleetera kye tuyita Oluyange,Ekimuli kya Kasooli n’ekiddirira kwe Kuweeka.
Kasooli bwaleeta Ennyange waggulu, eno ku kikolo wakati aleeta Enviiri Enjeruukirivu oluvannyuma ezivaamu eminwe gya Kasooli ebimuli by’Oluyange bwebizigwako.
Nsaba okitegeere nti Oluyange ku kirime kya Kasooli kye kitundu ekisajja,Enviiri zetwogeddeko enjeruukirivu n’Ekikongoliro bye bitundu ebikazi era bino bwe bitafuna mpumbu eva ku Luyange waggulu,Kasooli tassaako mpeke n’emu,ayagala okukola okunoonyereza ku ekyo oli waddembe.
Omuganda n'obulunzi