Ebirime bwe bisimbibwa ne bidda,wayita ekiseera omuddo ne gubimeramu ng’omulimi ateekeddwa okugubiggyamu bisobole okukula obulungi.Ekiseera ekyo Omulimi kyayita eky’Amakoola mwakoolera ebimera bye n’aggyamu omuddo bisobole okugenda obulungi mu maaso.
Ekiseera kino emirundi egisinga kiteekeddwa kubeera kya nkuba ebirime bisobole okufuna amazzi agawera engeri omulimi gyabeera agguddewo ettaka ng’abikoolamu.Mu kiseera kino eky’amakoola Omulimi akoola bwattira ebirime bye kimuyambe okusigaza ebyo byokka byabeera ayagadde okusigaza ku buli kikolo.
Okugeza Omulimi wa Kasooli ayinza okuba nga yasimba empeke ttaano ttaano mu buli kinnya zonna ne zimera wabula ebimera bino ebitaano kutera okubeerako ebivuddemu obulungi okukira ebirala ebyo Omulimi byaleka ku buli kikolo n’aggyamu oba n’akuulamu ebibeera bitavuddeeyo bulungi.Ku bimera ebitaano ebibeera byamera ayinza okusalawo okusigazaako ebisatu oba ebibiri okuzinziira ku kikya ky’ekimera,ekyo kyabeera akoze mu kutta ebyo ebyali bitavuddeeyo bulungi,Omuganda kyayita Okuttira.
Mu lulimi olulimi lw’Emmwanyi ekyo kiyitibwa kuwawaagulira,Omulimi w’akwatira Ejjambiya n’agenda ng’atemamu amatabi g’emmwanyi agafaanana ng’agataaveemu bulungi gawe gannaago omwaganya ogubala obulungi.
Omuganda n'obulunzi