Omugoberezi waffe, ebikolwa bino byombi okusiga n’okusimba bya luganda era amakulu gaabyo gaagalira ddala okufaanaganamu/geeriranye weewaawo nga ssi bye bimu.Byombi bikolebwa balimi omuntu omulala b’ayinza okuyita Abakunsammimbi naye ekimu kyeyambisibwa nnyo ng’omuntu ayogera ku birime ebisigibwa n’Empeke ate ebirime ebisigibwa n’Endokwa ne byeyambisa ennyo Okusimba engeri endokwa gy’ezisigala zeesimbye jjaali nga gwe baagereesa ‘Amira eryenvu’.
Kale okusiga kweyambisibwa ssinga tuba twogera ku bijanjaalo,Kasooli,Ebinyeebwa,Kawo,Mpoca,Enkoolimbo,Empande n’ebirime eby’ensigo ebirala.Bwetudda ku luuyi lw’okusimba,Omulimi abeera asimbye ndokwa ng’ey’Omuyembe,Ffene,Eppaapaali,Omucungwa,Ekitaffeeri,Ensukusa y’Ekitooke,ey’Ebbidde n’ebirala ebisigala byesimbye.Leka kukozesanga bigambo bino ng’obiwaanyisizza buli kimu kitambulira ku byekikwatagana nabyo.
Omuganda n'obulunzi