Omulimi bwatuusa ekiseera ekigere,ava kumu Amavuunike ge,agenda agavuunula mpolampola n’enkumbi nga bwagakuba ebigulumu biseeteere era n’ayooyoota waanasobola okusimba ebirime bye mu lusimba olubeera lutuuse.
Omulimi kino bwakimaliriza olwo ekibeera kisigalidde kubeera kusiga ng’atandika n’okusima ebinnya okusinziira ku birime byagenda okusimba.Amabanga wakati w’ebinnya omulimi byasima,obuwanvu bwabyo n’obunene bisinziira ku kika kya kirime kyabeera agenda kusimba,okugeza amabanga omulimi g’alekawo wakati w’ebinnya by’Ebinyebwa n’by’Ebijanjaalo gaawukana,eby’ebinyebwa amabanga gabeera matonoko ate eby’ebijanjaalo gabeera maneneko engeri Ebijanjaalo gyebiranda n’okusakaatira oluusi.
Emiwendo gy’Ensigo Omulimi zaasiga mu buli kinnya nazo zisinziira ku kika ky’ekirime era bwezimera omulimi afuna omulimu gw’okuzeetegereza alabe ebimera ebinaakula obulungi n’ebitaasobole byattira awo mu Makoola gaabyo n’okutemerwa.
Omuganda n'obulunzi