1.Ekisambu kye kiki?
Ekisambu kye kifo omulimi weyali alimiddeko era n’akungula ebirime bye wabula n’atasimbamu birime birala mu lusimba oluddirira n’ekiruubirirwa ekizza obugimu mu ttaka lye.Omuganda bweyatuusanga ekiseera ekiddamu okulimira mu kifo ekyo yakisambulanga.
Basambula batya?
Omulimi asooka ku kisaawamu muddo bwegukala n’aguteekera Omuliro n’ekiruubirirwa ekyongera ku bugimu mu ttaka lye.Obugimu buno buva mu Vvu nga bino Omulimi yabikolanga wakyabulirayo ddala ekiseera.
Olwo bweyabanga agenda kukisimbamu Binyebwa,Kawo,Soya oba Bijanjaalo yakikabalangamu n’ekiruubirirwa ekitabula evvu n’ettaka ate n’okuggya obugimu bwe wansi mu ttaka ebirime bye bisobole okubweyambisa Omulimi kyayita okutema Evvuunike.Amavuunike gano gaalekebwangawo okumala ekiseera ekitali kinene ne gakubwa,kye bayita Okukuba Amavuunike.
Omuganda n'obulunzi