Ab’enganda z’abantu abaafiira mu nnyanja Nnalubaale ku lw’omukaaga oluyise bwebaakubwa amayengo g’amazzi mu bifo ebibiri ebisanyukirwamu ekya Aero Beach ne Lido Beach bazinzeeko eggwanika ly’eddwaliro ekkulu e Mulago nga baagala emibiri gy’abantu baabwe.
Kinajjukirwa nti abantu amakumi 25 kyakakasiddwa nti be baafiira mu mazzi ku olwo ng’ennaku z’omwezi amakumi 26th omwezi guno nga n’oluvannyuma lw’okunnyululwa emibiri gyabamu ku bano 13 gyatwaliddwa mu ggwanika e Mulago ng’aduumira poliisi y’abazimyamwoto Joseph Mugisa ategeezezza nti abasinga ku bano baabadde batuuze be Mukono n’abalala batuuze be Nateete wano mu division ye Rubaga.
Mugisa asabye abaddukanya ebifo bino okulambanga ebifo ebirimu amazzi amawanvu ennyo ate n’okugaananga abantu okuwuga okusukka ku kkumi n’ebbiri ez’akawungeezi olw’okwewala ebiyinza okugwawo.
Omuganda n'obulunzi