BURUNDI: MUSEVENI AGGUDDEWO ENTEESEGANYA

Omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni avumiriddennyo ekittabantu ekyegiriisiriza mu ggwanga lya Burundi bukyanga wabalukawo busambattuko wakati wa Gov’t ya munywanyiwe Pierre Nkuruziza n’abamusekeeterera abaagala okumusuuza obukulembeze kyagambye nti ssibaakukiguminkiriza.

Bwabadde aggulawo enteeseganya zino ezigendereddwamu okugonjoola akanyoolabikya akamaze ebbanga mu ggwanga lya Burundi ezigenda mu maaso wakati w’abakungu okuva mu Gov’t ya Pierre Nkuruziza n’abali ku luuyi Gov’t ye lwegugulana nayo mu maka g’omukulembeze w’eggwanga lino wan mu kyondo e Ntebbe Kabwejungira Yoweri Kaguta Museveni ategeezezza nti ekimu ku bizibu by’amawanga ga Africa be bataka mu go okulowoozanga nti obugagga obutaliiko alina buli mu bukulembeze nebeerabira nti businga kuva mu byabulimi n’emirimu emirala egitambulira ku mbeera y’obudde naddala ku Ssemazinga ono ng’okulunda.

Agava mu maka g’omukulembeze w’eggwanga mu nteeseganya zino galaze nti oluuyi lwa Gov’t ya Pierre Nkuruziza lukulembeddwamu minister w’ensonga z’amawanga ag’ebunaayira n’enkolagana n’amawanga gano Alain Aime Nyamitwe ng’abakungu abalala abatalutumiddwa mwana kuliko;abakulemberamu oluuyi oluwabula Gov’t ya Burundi,abakkiikiridde abakulembeze b’eddiini mu ggwanga lino,ab’ebibiina by’obwannakyewa,ebibiina by’abakyala mu Burundi n’abalala bangi.

Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa minister w’eby’okwerinda n’obutebenkevu wano mu ggwanga Chrispus Kiyonga enteeseganya zino zeetabiddwamu n’omukiise w’amawanga ga Ssemazinga wa Africa mu mukago ogutaba amawanga gano gonna ogwa African Union Kakensa Ibrahima Fall,Omubaka okuva mu mukago gw’amawanga ga Bulaaya Koen Vervaeke,Omubaka wa America avunaanyizibwa ku mawanga ga wano agagabana ku nnyanja ennene mu ttundutundu lino Thomas Perrielo okwo gattako Jamal Benomor omuwabuzi ow’enkizo eri Ssaabawandiisi w’ekibiina ky’amawangamagatte ku ggwanga lya Burundi n’abakungu abalala bangi.

Kinajjukirwa nti okunenengana mu ggwanga lino kwatandika jjuuzi mu mwezi gwa Kafuumuulampawu Ogw’okuna omwaka guno omukulemeze w’eggwanga lino bweyalangirira nga bwagenda okwesimbawo asabe ekisanja ky’obukulembeze bw’eggwanga lino eky’omulundi ogw’okusatu amale alangirirwe nako nga bwamaamuddwako omu ku banene mu Magye Maj Gen Godefroid Niyombare mu mwezi gw’okutaano omwaka guno.