Munnayuganda omuyimbi w’ennyimba z’eddiini Sam Lucas Lubyogo amanyiddwa nga Levixone abuse n’engule y’omuyimbi omusajja asinga ku Ssemazinga wa Africa mu mpaka za Sauti Awards.Empaka zino ze zimu ku zisinga okubeera ez’amanyi ku Ssemazinga ono mu kisaawe ky’ennyimba z’eddiini nga zitegekebwa buli mwaka okwongera Ettoffaali ku bakwasi b’ennyimba z’eddiini.
Empaka z’omwaka guno 2023 zitegekeddwa mu Kkanisa ya North Metro mu ttwale lya Georgina mu America Levixone mwawangulidde banne bwe bavvunkanidde Engule eyo okwabadde DJ P2N okuva mu DRCongo,DJ Snake owa Algeria,DJ Sky King okuva e Ghana ne DJ Yessenia owe Namibia.
Mu mpaka ze zimu,mwanamuwala Gabie Ntaate naye mwawangulidde eky’Omukyala Omuyimbi ow’Omwaka 2023 kweyavvunkanidde n’abayimbi b’ennyimba z’eddiini abakyala abawera okwabadde Dr Sara K Rehema Simfukwe,Bella Kombo,Evelyne Wanjiru,Rose Muhando ne Celestine Donkor.
Bannayuganda bano ababiri okuvaayo n’obuwanguzi mu mpaka z’ennyimba z’eddiini,kabonero akalaga oluwenda olw’obuwanguzi abayimbi b’ennyimba z’eddiini wano mu Uganda lwe bakutte.
Concert ya Uncle Kaboggoza,''Girl Wange'' eyengedde