Skyz Hotel ku bitone


Davis Mugabi General manager Skyz Hotel Naguru
Image: Yintaneeti

Wooteeri galikwoleka eya Skyz e Bukoto esabuukuludde kaweefube w’okuzuula n’okutumbula ebitone mu bannabitone ng’eyita mu kubateekerangawo enteekateeka ze banaayimbirangako gye batuumye ‘’The Skyz Exclusive Experience’’.

Akulira wooteeri eno Davis Mugabi ategeezezza nti basazeewo bassizeewo abayimbi omukisa guno buli lwakuna okutandika n’olwa ssabbiiti eno bayimbirenga ku bivuga obutereevu kibayambe abo abakyali okumanyika n’okukakata mu kuyimba.

Omukulu agambye nti olw’okuna lwa ssabbiiti eno abagenyi baabwe mu nteekateeka eno baakusanyusibwa Irene Ntale agenda okuggulirawo bannabitone abato.Ng’oggyeeko bannabitone abato okufuna omukisa oguvaayo,n’oluuyi lw’eby’enfuna gye bali terujja kusigala kye kimu.