Bwanabwattu obwa Ghetto Kids obubadde mu kusindanira Engule y’ebitone enteekateeka eyawomwamu omutwe Bungereza eyakyase ennyo nga ‘’Got Talent’’buviiriddeyo awo nga gwe baagereesa ayokya Omusota.Mu lusindana olw’akamalirizo olwabaddewo jjo mwanamulenzi Viggo Ven munnansi wa Norway teyabalabizza ku Njuba.
Ono yaddiriddwa mwanamuwala Liliana Clifton naye n’addirirwa Cillian O’Connor.Abaana baffe bano baasanyudde bulungi abalabi bonna n’abasazi b’empaka mu ngeri eyeefaananyirizza ng’abanaawangula wabula obulungi bw’amazina ge baazinidde ku nnyimba ez’enjawulo ne bweveera oluvannyuma okukkakkana nga tebalabiseeko yadde mu basatu abaasinze.
Huge congratulations to Viggo Venn on winning the public vote, and to our two Runners-Up, Lillianna Clifton and Cillian O'Connor! You've all given phenomenal performances and we've loved watching you on the Britain's Got Talent stage. See more from Britain's Got Talent at http://itv.com/BGT SUBSCRIBE: http://bit.ly/BGTsub Facebook: http://www.facebook.com/BGT Twitter: http://twitter.com/BGT Instagram: https://www.instagram.com/bgt/ TikTok: https://www.tiktok.com/@bgt
Omuwanguzi bwatyo yeewangulidde emitwalo amakumi 250,000 egya ssente za Bulaaya eza Euro n’agattirwako emiganyulo emirala mingi ng’okwolesa ekitone kye gyebunaggya omwaka guno.
Concert ya Uncle Kaboggoza,''Girl Wange'' eyengedde