Omuyimbi ow’erinnya Pius Mayanja amanyiddwa nga Pallaso ddaaki azzeemu n’asisinkana abantube baabadde atutte emyaka omunaana nga talabako.Mwanamulenzi ono mu mwaka gwa 2004 yagenda mu America okwongera okuwenja ssimooni gyeyaganziza mwanamuwala Nicole ne bazaala n’abaana babiri okuli Dinari Mayanja ne Maisha Mayanja.Pallaso oluvannyuma yadda kuno okutandika ogw’okuyimba wabula kigambibwa nti nnyina w’abaana be kino teyakyagala.Ono mbu abaddenga awuliziganya n’abantube bano ng’olubadde lukyasembyeyo okubalaba liiso ku liiso abaanabe omu yalina omwaka gumu nga ne munne w’ebiri,gye myaka Munaana okuva leero.Olw’okusatu lwa ssabbiiti eno Pallaso lweyazzeemu okulaba ku baanabe wamma ggwe essanyu neribula okumutta.Baasisinkanye ku kisaawe Entebe n’oluvannyuma ne batwalwa balambule ku b’endanga zaabwe abalala.
Concert ya Uncle Kaboggoza,''Girl Wange'' eyengedde