Maama w’Omwana wa Bruno K amanyiddwa nga Vanessa Kirabo yeetonze mu lwatu olw’okuyisaamu bba amaaso.Ababiri bano mu ssabbiiti eziyise balabise nnyo mu butakkanya obusinze okuva ku Bruno K mbu okusuulawo obuvunanyizibwa bwe ng’omwami.Mu bimu ku biwuliddwa,Omukyala Vanessa Kirabo yayogera n’eby’omu kisenge ebitaalisaanidde kwogerwa ku mwagalwa we.Bino n’ebirala byanyiza nnyo abagoberezi ba bantu bano era ne bimuwaliriza n’okuvaayo mu lwatu yeetonde era akamu ku butambi obutambudde ennyo wano ku mikutu emigattabantu ke k’okwetonda kwe.Mu bigambo bye ‘’Nneetondera taata w’omwana wange Mwami Bruno Kiggundu,nkimanyi yanyiiga olw’ebyo bye nnayogera’’
Vanessa Kirabo nnyin’omu yeeyamye obutaddamu kusamwassamwa na kuweebuula bba,nti byalabye akuze era amusuubiza okufuukira ddala omukyala amakula.
Concert ya Uncle Kaboggoza,''Girl Wange'' eyengedde