Nnawolovu tafiira ku bbala limu,Omuyimbi Zulitums ayabulidde Black Aavy

Zulitums
Image: Courtesy Photo

Omuyimbi Sam Semwogerere amanyiddwa nga Zulitums mu butongole afulumye ekibiina kya Black Avay Records Entertainment.Omukulu ono ekibiina ekyo yakyegattako emyaka esatu egiyise wabula omwaka mulamba emabega tafulumizza nnyimba ziwera ekimu ku bitasanyusizza bawagizi be.Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa aba Black Avay Records Entertainment,kitegeezeddwa nti tebakyavunanyizibwa ku mirimu gya mukulu ono kubanga n’endagaano ey’emyaka esatu gye bassaako emikono yaggwaako.Zulitums bweyali tanneegatta ku Black Avay,Omuyimbi w’’’Oluvannyuma’’ yakoleranga wamu ne Ykee Benda wansi wa Mpaka Records era bweyali akyali eyo yafulumya ennyimba eziwera omuli ‘’Ebisooka n’ebisembayo’’,’’Ssinga Omanyi’’ n’endala.