Omuyimbi Omunene ebiro bino eyafuuka munnabyabufuzi Robert Kyagulanyi amanyiddwa nga Bobi Wine asabye bannayuganda okuwabula abayimbi abato,baleme kufuuka bisekererwa.Kyagulanyi agambye nti abayimbi abato bazze beeyisa mu ngeri y’obusiiwuufu bw’empisa baabuwe nebinakuwaza abawagizi baabwe omuli Okufuuweeta Enjaga,okulwaniranga yonna gye bayitira,n’ebirala awatali kwekuba mu bifuba.
Omukulu asabye bannayuganda baleme kusalira bantu bano misango wabula babawabule nga babazza mu makubo amatuufu engeri abasinga gyebakulidde mu bifo by’enzigotta ebimanyiddwa nga Ghetto.Bano basobolera ddala okuvaamu abantu abalungi era ne basanyusanga bulungi abawagizi baabwe nga tebabeesittazza.
Ku nsonga z’oluyimba lwe oluggya olwa ‘Nalumansi’ olutaawagiddwa abasing obungi,Bobi Wine agambye nti abalufunamu amakulu balujjumbire,ssi buli omu nti asobola okulutegeererawo n’abasaba bajjumbire okuluwuliriza tebajja kuviiramu awo,naye lulina obubaka obulungi.
Concert ya Uncle Kaboggoza,''Girl Wange'' eyengedde